www.fgks.org   »   [go: up one dir, main page]

Jump to content

Omusomesa Sandra Ogwang Santa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Revision as of 07:53, 19 Gwakusatu 2023 by Ssuuna Peter (yogera nange | byawaddeyo) (Created by translating the page "Alum Sandra Ogwang Santa")
(enjawulo) ←Laba ebyasookawo bino | Oluwandika oluliwo kakati (enjawulo) | Oluwandika oluddako→ (enjawulo)

  Alum Sandra Ogwang yazaalibwa mu mwezi gwa Kkuminebiri nga 2, 1972 munnayuganda nga yasoma mbeera z'abantu, munna byabufuzi ate era mubazi w'amateeka.[1] Mubaka mukyala kiikirira bantu ba Disitulikiti y'e Oyam mu Sseteesezo wa Uganda.[2] Munnakibiina kya Uganda People's Congress ( UPC),[3] ekikulemberwa Jimmy Akena, nga naye mubaka wa Palamenti akikiirira abantu ba munisipaali ye Lira[4] and era mutabani w'eyaliko pulezidwenti wa Apollo Milton Obote.[5]

Obuyigirize

Alum yasomera mu Anai primary school eyo gye yatuulira ekibiina ky'omusanvu mu mwaka 1987. Oluvannyuma yeegatta ku Ikwera girls secondary school gye yafunira ebbaluwa siniya ey'okuna mu 1990.Yeegatta ku Bombo senior secondary school era nga eyo gye yafunira ebbaluwa ya ssiniya ey'omukaaga mu 1994. Yasomera ku ssettendero wa Makerere gye yafunira ddiguli mu by'okulabirira amaterekero g'ebitabo n'amawulire mu 1998. Yagattako ddiguli ey'okubiri mu by'enkula y'abantu mu 2010 ku ssrettendekero y'omu.[2]

Emirimu

Alum akola nga omutandisi era omuwandiisi w'ekitongole kya Sysplus Limited okuva omwaka 1998 okutuusa kati.[2] Okuva 2005 to 2006 yali ayingiziza miwendo ku ssettendekero e Makerere.[2] Yaliko ku kakiiko k'okubala ebitabo ku disitulikiti ya Oyam okuva 2006 okutuuka 2010.[2] Mu 1998 yali musomesa ku ssomero Almond College, Lira.[2]

Mubaka wa Palamenti okuva omwaka 2011 okutuusa kati.[6] Mu Palamenti, akiikirira kibiina kya Uganda People's Congress (UPC) nga Nampala waakyo.[7] ono era ali ku bukiiko okuli ak'ebyenfuna n'akebyobulimi n'obulunzi. Era akiika ku lukiiko lw'abakyala olwa Ssetteesezo wa Uganda ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).[8]

Alum Santa mukiise ku lukiiko lwa Palamenti olulwanirira eddembe ly'ekikula ky'abantu ekya Uganda parliamentary forum on social protection (UPFSP).[9]

Laba ne bino

Emitimbagano gy'ebweru

Ebijuliziddwa

  1. https://www.wikidata.org/wiki/Q57829630
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 "Parliament of Uganda members of the 10th parliament". Parliament of uganda. Retrieved 15 April 2020. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  3. Moses, Mugalu (1 May 2011). "New otuke mp appointed UPC leader in house". The observer. Retrieved 15 April 2020.
  4. Julius, Kitone. "Jimmy Akena seeks new term as UPC president". Nile post. Retrieved 15 April 2020.
  5. "Today in history: Obote becomes president". New vision. 4 March 2020. Retrieved 15 April 2020.
  6. "Members of parliament information". Parliament of Uganda. Retrieved 15 April 2020.
  7. Olive, Eyotaru (1 October 2016). "Role of government chief whip questioned". Uganda radio network. Retrieved 15 April 2020.
  8. https://web.archive.org/web/20210418030533/http://uwopa.or.ug/content/members-uwopa-10th-parliament
  9. "Our people". Uganda parliamentary forum on social protection. Retrieved 15 April 2020.